Ebisoko -Luganda Idioms – EBISOOKO N’ENJOGERA EBYENONO
Ekisoko (Luganda Idiom) – Amakkulu (Meaning)
1. Okutema ku lw’e Nnamuganga(lwazi) – kutema wwakaluba
2. Eyayalula omuntu okusiriira(nkejje) – kulaba nnaku/ kugwa mu buzibu
3. Okukuba ey’Abageye – kutuula nga totereera
4. Okussa ku w’e Mbuule(ssezinnyo) – kulya oba kugaaya
5. Okukwata Kalambi ne Bira – kuliraanigana nnyo
6. Okuva e Bule n’e Bweya – kintu kuba kigazi
7. Okukwatana Bbuzu ne Mpumu – kuliraanigana nnyo
8. Okukwatana Kawempe ne Ttula – kuliraanigana nnyo
9. Okwegoba ku muntu nga Ssemukkuto bwe yeegoba ku baki b’amayenje – kubaviirako ddala
10. Okukwatira Ssebatta ensawo – kwereetera bizibu
11. Okuzza ogwa Nnamunkukulu – kuzza musango munene
12. Okwesuulirayo ogwa Nnaggamba(mwoyo)butafaayo ku kintu kya mugaso –
13. Okuba omutaka w’e Misindye(Nnamutwe) – kuba mutwe mukulu mu kintu ekikolebwa
14. Okubeera omutaka w’e Nnamataba(Mulindwa) – kubeera nga ggwe alindibwa
15. Okukongojja Ndawula – kuba mulwadde wa lukusense
16. Okuba omulere gwa Ssuuna – kwogera kintu kimu lutata
17. Okusasula omuntu nga Ssuuna bwe yasasula abaziba – kunyaga muntu
18. Okuba omutaka w’essambwe (Nnabugwamu) – kweyingiza mu mboozi etakukwatako
19. Okuba akafukunya akaagula Mukono(Kyaggwe) – kintu kuba kingi nnyo
20. Okuba n’ogwa Nnanteza(omukisa) – kuba na mukisa ogutasangika
21. Okukuyisaako ow’e Mbuya(Kaggo) – kukuba muntu na mbooko
22. Okusanga omutaka w’e Kalungu(Ssemusota) – kussanga musota
23. Okuwona Mayanja ow’olusenke – kuwona kabi akaamaanyi
24. Okukwata mu ka Waliggo(Kasawo) – kukwata mu nsawo ofunemu ssente
25. Okuwerekera Mpinga mu Kibira – kwereetera bizibu nga olaba
26. Okulya ng’eyasimattuka Kkunsa – kulya nnyo
27. Okutuuka omuntu nga Nnalunga bweyatuuka Jjuuko – kwagala nnyo muntu
28. Okutuula mu za Mugula – kutuula mu ntebe
29. Okutuula obukonge Ndawula bweyatuula e Buwaali – butava mu kifo
30. Okutuula ntitibbwa Mirimu gye yatuula mu Ndejje – butava mu kifo
31. Okutwala omuntu nga Mwanga – kutwala muntu bubi
32. Ennyumba okuba nga eya Mugogo e Ssanyi – kuba na miryango mingi ate nga nnene
33. Kimyanku okuba nga ye Mugabe – mbeera ya lusaago(ekisa) okuggwaawo
34. Okuba omutaka w’e Ddambwe(Kiggala) – kuba nga towulira
35. Okubuuza Ssaalongo endeku – kubuuza kintu kirabika
36. Okuyita Ttembo – kugwa ddalu
37. Okuyita ssikaala e Buddo – kwesiima olwokufuna ekirungi
38. Okwogera olwa ssenkoole – kwogera bigambo nga tobimalaayo
Leave a Reply