Ebisoko -Luganda Idioms – ENJOGERA N’EBISOOKO EBIGEERAGERANYA
Ekisoko (Luganda Idiom) – Amakkulu (Meaning)
1. Awejjera ng’owoolufuba atakkuse lumonde – kukololakolola buli kadde
2. Atitibana ng’atuga omulalu – kukola kintu nga okankana
3. Okwebaka kaboleredde ng’omunafu omulekere obuliri – kwebaka nnyo
4. Kibula abuuza nga erigenda e mugga – kintu kuba nga kirabika
5. Weetema engalike nga akaabira abaafa edda – kukola kintu kitakyagasa
6. Weeringa ng’omunafu alima asalira – kukola bintu nga tebinyiridde
7. Weefunuggula ng’omunafu alima awagonda – kukola kintu nga okozesa amaanyi mangi naye ate nga tekyetaagisa kukozesa maanyi mangi
8. Atunula sseddoolo nga omukadde ayogereza – kutunula nga osobeddwa
9. Gujabagidde ng’omunafu azadde kaliira – mbeera kwonooneka
10. Okuba bulatti nga omussezi ali ku limbo – kubeera musanyufu nga tolina kikwerariikiriza
11. Okuyimba nga ennyonza – kuyimba bulungi
12. Okusitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi – kwanguwa kukoka kintu
13. Okuba mannyangwa nga lumonde w’omukibanja – butalabikalabika
14. Okufuga abantu nga obudde – kufuga bantu nga obatuntuza
15. Okuteeka nga aga Lubigi – kuba mu mirembe/muwombeefu
16. Okuyita kuli nga mufu y’awunya – kwewulira
17. Kusaambira mabega nga jjanzi – kusanyuka nnyo
18. Okutunula bakimpe nkirye gy’oli ab’emiryango tebakyagala – kutunula nga weegwanyiza/weeyagaliza
19. Okufunya emimwa nga ayita abaffe – kwogera nga ofunyizza emimwa
20. Okugabattukana nga agabana ebikaawa – kutambula ng’opapa ne bakwekokkola
21. Okwasaamirira nga agabanye ebikaawa – kutunula nga oyasamye
22. Okugaala emimwa nga ayita Ana – kwogera nga oyasamye
23. Okuginika amannyo ng’embwa eggya obubi mu ssubi – kuseka ne mu mbeera eteetaagisa
24. Okutunula kyamuli nga essalambwa ery’ensenke – kutunula nga towadde kintu birowoozo
25. Aseka bbuniza nga asaba bba enseko – kuseka nga weebwalabwala
26. Okwekuteera nga ayalira atajja – kukola kintu ekitagasa
27. Gumuli wamu ng’alya ne muganzi we eky’eggulo – kuba nga teweerariikirira
28. Gumuli ku mutwe ng’eyabuulira ow’olugambo – kweraliikirira
29. Ayogera nga gwebaasala akanyata – muntu kuba nga ayogera nnyo
30. Kalonda nga omusiri gw’omunafu – kuba nga bintu bingi biri mu mugotteko
31. Ayogera kirabika nga ow’ejjanga abika – kwogera kirabika
32. Atambula sserebu nga eyakwana ogw’okumpi – kwetala nnyo mu kifo
33. Okweyisa ng’owakagatto akamu – kwetala nnyo
34. Yeetiiyuula nga omuganzi atalina kabina – kukola kintu nga tofaayo ku balala kyeboogera
35. Akunaamiriza nga alega jjuule – kukutaamiriza
36. Akabina kamulinga ak’ensejjere eyingira enkata – kuba na kabina kaakikinala
37. Yakula butalaba nga kiwojjolo – kubeera nga byokola tebigya mu myaka
38. Kukuza mutwe nga mmale – kubeera nga byokola tebigya mu myaka
39. Amatama gamubyabyatadde nga lumonde omulinnyire mu mulyango – kuzimbya matama
40. Okulebera emimwa nga ccapati ennumeko – kulebera mimwa
41. Kutunula kalyolyongo nga embwa eyota ekikoomi – kutunula nga osobeddwa
42. Kutunula kimpeewuukirize ng’embwa erwazizza nnazaala – kutunula nga osobeddwa
43. Abyangatana nga Nnasaza agaba magera – kutuula nga osaasaagana
44. Okusitunkana nga gwebaloga ekiwunyo – kutuula nga osaasaagana
45. Ayuguuma nga balugu atannaba kukwata mutuba – kubeera nga otagala
46. Amaaso gamwesimbye ng’emmandwa y’engo – kukanula maaso
47. Akanula amaaso ng’enkoko enywa mu lwendo – kukanula maaso
48. Atolotooma ng’empanga enyweddemu mazzi amanaabe mu ku kyalo kwe –
49. kulidde – kugenga nga weemulugunya, nga tomatidde
50. Yewombeese nga eggole eririba ejjombi – ku mize nga okyali mugenyi
51. Atunula gammyanssa nga omufumbo amira agookya – kutunula nga ebizibu bikweraliikiriza
52. Yaddugala nga enzinziiri – kuba mudddugavu kagongolo
53. Yeetiiyula nga nnamwandu akuba embaala – kwessa ku byotosobola
54. Yeesimbye jjaali nga omusezi asusa eryenvu – kuyimirira butengerera
55. Okwesimba nga ssettaala mu lutobazi – kuyimirira butengerera
56. Okwebwalabwala ng’olubwa olubbi – kubeera nga weekomomma / weetya
57. Okwegiriisa nga ekigotta entula – kweyagala nga teri akugambako
58. Okweyagala ng’obulago bw’enkoko obutasibwamu mugwa(muguwa) – kweyagala nga oli mu mirembe
59. Okuniigiina nga sseddume eyasizza entamu nti bananfumbira wa? kukola nsobi ate n’otadda mabega kutereeza bisobye –
60. Okwereega nga akakammula kkwete – kwepanka ku byotaasobole
61. Okuyitirayo nga omulongoose – kugenda n’otadda
Leave a Reply