UTIS UACE LUGANDA Olupapula olwokubiri Essaawa ssatu (Okukyusa Okuwandiika Emboozi, Okusoma Bwino N’okufunza)

UTIS UACE LUGANDA Olupapula olwokubiri Essaawa ssatu (Okukyusa
Okuwandiika Emboozi, Okusoma Bwino N’okufunza)

UGANDA TEACHERS’ INTERVENTION SCHEME
Joint Mock Examinations
UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION
LUGANDA
Olupapula olwokubiri
Essaawa ssatu
(Okukyusa Okuwandiika Emboozi, Okusoma Bwino N’okufunza)

INSTRUCTIONS TO CANDIDATES:
Olupapula lugabanyiziddwamu ebitintu bina A, B, C ne D.
Ebitundu A, C ne D bya buwaze.
Mu kitundu B kola 2(a) oba 2(b).
Fuba oddemu nga bwolagiddwa mu buli kitundu

EKITUNDU A
Ddamu 1(a) ne (b)
1.
(a)
Kyusa ekitundu kino okize mu lungereza (obubonero 15)

Abasawo bawa abalwadde eddagala mu ngeri ez’enjawulo. Engeri

esinga okozesebwa y’eyokumira era nga ziba mpeke oba ery’okunywa.

Obuzibu bw’eddagala ly’okumira buli nti ekitundu kyalyo ekimu

omulwadde akifiirwa nga terimerenguddwa kibumba. Emmere ekola ku

kuyingira kw’eddagala mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo, era omusawo

aba alina okukubulire nti olimira ng’olidde oba ngo tolidde

(Kisimbuddwa mu MUNNO VOICE).

(b)
Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda.

Aids is the most serious health problem in uganda today with reported

cases doubling every 12 months. It is the leading causes of adult deaths and

the sixth among children under five. The number of AIDS cases orphans and

children with H.I.V, is increasing rapidly. Repored AIDS cause in girls aged

15 – 19 out number by six times cases in boys of the same age.

There is hope however, most ugandans knows how to AIDS is spread

and the options they have to protect themselves. Although the behaviors

changes that should accompany this knowledge are not very evident, some

change is taking place. The challenge now is to help ugandans translate their

knowledge of AIDS into sexual behavioural change that will protect them

from H.I.V.

Says Dr Sarah Nsereko a nutritionist at Mulago Hospital

Quantity of Breast milk increases the more breast feed, the hormone

which stimulate milk production reduces and so breast milk. Breast milk

helps in the development of internal organis such as lungs, brain, heart etc.
EKITUNDU B
Ddamu 2a oba 2b

2.
(a)
Ku mitwe egikuweereddwa londako gumu oguwandiikeko emboozi

ya gigambo 350 – 400. (Buli mutwe gwa bubonero 30)

(i)
״Bodaboda zisaana kuwerwa” kubaganya ebirowoozo.

(ii)
obukulu bw’empaka z’emipiira gy’ebika n’amasaza ga

Buganda.

(iii)
Bbaabwe yafiira mu maanyi.

(iv)
Obukulu bw,ennimi enzaaliranwa.
Oba

(b)
Ku mitwe egikuweereddwa londako ebiri (2) buli gumu

oguwandiikeko emboozi nga bw’olagiddwa. (Buli mutwe gwa

bubonero 15)

(i)
Wabadde ne bayizi banno nga muva ku ssomero owaboda

eyabadde avugga eddima naabasabala era akabenje kabadde

kamanyi. Wandiika sitatiment gyonoowa ku polisi. (kozesa

ebigambo 200)

(ii)
Ggwe mukulu w’abazadde mu Bumaali secondary school.

Wandiika by’onooyogera mu lukiiko lw’abazadde ku ngeri

y’okutumbula eby’engigiriza ebiddiridde mu ssomero eryo.

(kozesa ebigambo 200)

(iii)
Ggwe muwandiisi w’olukiiko lwe kyalo olutuula buli mwaka.

Wandiika ebiteeso by’olukiiko olwatita. (kozesa ebigambo 200)

(iv)
Weefule ssentebe eyakulidde akakiiko akaakoze okunoonyereza

ku nsonga eziviirako abayizi okozesa enjaga n’ebiragalalagala.

Owandiike alipoota gye munaawa ab’ekitongole

eky’ebyobulamu. (kozesa ebigambo 200)
EKITUNDU C
3.
Soma ekitundu kino n’oluvanyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

(obubonero 20)

Wafaanana okuba nga waliwo amawanga g’Abaafirika matono nnyo mu

Afirika eya wakati agalina ebintu ebigagatta awamu okwenkana eggwanga

lyaffe. Buganda. Kabaka waffe ow’ensikirano owolulyo olutakutukangako

okuva ku Ssekabaka kimera e Bumera, n’Ebika ebyagunjibwa nga muno,

n’olulimi lwaffe oluganda oluseeneekerevu gye miguwa gy’obugoogwa

egitugatta awamu Abaganda ffenna.

Kabaka tumuyita NNANNYINIMU kubanga Buganda yafaanaanyirizibwa

ng’amaka amanene ye g’afuga. Mu maka ge ago kabaka alinamu abantu ba

ngeri nnyingi abalungi n’ababi abagezi n’abasiru abagagga n’abaavu.

Abamu abalonda okumubeera okufuga n’okulamula ennyumba ye abo bonna

abaagala bumu, bonna abasaliramazima, kyebava bamwagala ennyo era ne

bamwesiga ng’obuvune. Singa Kabaka abantu be bonna yali tabaagala bumu

era nga tabasalira mazima teyandiyitiddwa NNANNYINIMU era singa

tetumwesiga.

Ebika by’Abaganda byonna byava dda nga byagalana nnyo era nga

bitabagana bulungi. Okutabagana kw’ebika by’Abaganda tusinga kukulabira

mu kuwasa ne mu kufumbirwa kwabwe. Okuggyako Ekika nga kimu

kyokka eky’Emmamba, abantu b’Ebika ebirala byonna tebakkirizibwa

kufumbiriganwa. Buli Muganda ateekwa okuwasa oba okufumbirwa mu

kika ekirala ekitali kikye era ekitali kya nnyina. Ekyo kiraga okutabagana

kw’Abaganda okw’ekitalo! Tewali kika n’ekimu ekiwalanibwa ebika

ebirala.

Okuvva edda lyonna Kabaka tasosola mu bantu be nga bagenze

okumukiikira oba okumukolera emirimu. Abaganda bonna Kabaka

abatabaganya mu ssanyu ne mu nnaku. Era bw’atyo Kabaka bw’akuza

abantu be bonna b’alaba nga bagezi ate nga banyiikivu mu mirimu gy’ensi

ye. Obwenkanya bwa Kabaka mukukuza abantu be mu mirimu

gy’obwakabaka bwe bulabikira ku kyambalo ky’obwakabaka eky’olubugo

omulangira alya Obwakabaka ky’asumikibwa. Omutaka mugema ku

wankaaki w’olubiri. Ekyambalo ekyo kiyitibwa Luyiira. Erinnya eryo

litegeeza nti Kabaka ayiira oba asitula abantu be bonna n’abatuusa we

bakoma nga tagoberedde buzaale bwabwe oba eddiini yaabwe.

(Bisimbuddwa mu MUDDU AWULIRA ekya M.B.Nsimbi)

Ebibuuzo.

(a)
Omuwandiisi ayogera ku Buganda nti esukkulumye mu ki/

(obubonero 06)

(b)
bintu ki ebigatta awamu Abaganda? (obubonero 06)

(c)
Lwaki tewali kika kiwalanibwa kinnaakyo oba ebika ebirala.

(obubonero 04)

(d)
Lwaki omuwandiisi atunyumiza ku kyambalo LUYIIra?

(obubonero 04)

(e)
Abantu lwaki banywerera ku kabaka waabwe?

(obubonero 04)

(f)
Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu

kitundu kyosomye.

(obubonero 06)

(i)
Obwakabaka

(ii)
Ssekabaka

(iii)
g’Abaafirika

(iv)
Nnannyinimu

(v)
Luyiira
EKITUNDU D
4.
Funza ekitundu kino mu bigambo nga 100.

Ensi egudde eddalu?

Saagala onnyanukule kati oba ng’ensi egudde eddalu oba tenagwa.

Ate ggwe nze atali omu ku abo abagisudde eddalu oba nti ggwe togisudde

ddalu onoŋŋanga otya okunziramu nga tonnaba kusoma bino. Bw’onoosola

onoddamu ng’omaze okubisoma. Naye ekibuuzo kiikyo, nkyanise buswa,

ensi egudde eddalu? Tunulako mu byobufuzi. Mu byeddiini mu masomero,

mu malwaliro, embeera y’obudde, leero menyeki, nfalize ki? Ensi egudde

eddalu? Wulira wulira.

Jjo luno nga ntwala mwana mu ddwaliro afune obujjanjabi, mba ntuuka mu

ddwaliro nga waliwo omulwaddwe ali obubi, abasawo baaliwo nga buli omu

amuyitako ng’atamulaba. Nagezaako okubategeeza nga bwe nali ntutteyo

omwana ajjanjabwe naye omusawo yanziramu nga yenna bw’atikka ebisige

nti ״Ssebo lwaki totuwaamu ku mpewo, twakulabye dda, era bwe

tunaayagala tujja kukolako.

Naye bw’oba olaba nga kikuluma, laba eryakuleese otusegulire. Byambulira

ku mimwa. Waayitawo akaseera mpa we kaaga. Omulwadde gwe

twasangawo n’akutuka n’afa. Ensi yali wali nga ya maanyi. N’abaali

bamututte bwe baalaba ng’akutuse omulambo baaguvamu bulekwe ne

gwerindiggula eri. Nalaba guli gutyo ko nze wano si we baagereesa nti

wafiira mulogew. Nga neetegula kifo. Owange ensi egudde eddalu.

Ebikolwa ebifaanana bwe bityo bifumbekedde mu maka, abazadde batuuse

n’okwokya abaana n’obuveera oba ebidomola olw’okuba yakutte mu nva.

Abaana basibwa ku muguwa ne balengejja mu nnyumba olunaku zzibi! Anti

olwo omwana yazannyeeko n’abaana bamuliraanwa. Empale bweyulika,

omwana taweebwa kyamisana. Abange ensi egenda wa n’ebikolwa

eby’ettima ebitalimu busaasizi?

Abasajja abakulu bazze ku bwana obusoma babwetisse, bandibwetisse naye

babutisse n’embuto ate bazeegaanye. Bano bamasiikini bawalampibwa buli

lukya ne batikibwa embuto, bamusiba mataayi nga babaziimuula. Omwana

omuwala n’eyaakava ku bbeere omusanga ku nguudo yeetunda. Abaffe,

tuzze wa?

Bannabyabufuzi, abakuumi b’eddembe, abasomesa, buli omu akola

kwesanyusa yekka. Bwe mukola endagaano n’omuntu akuyita bbali ne

yeddiza nye mubaddeko ababiri. Amalogo gafuuse amalogo! Wakiri oli

okuzisa naye nga temugabanye ku byabatuuyanya ababiri. Ensi egudde

eddalu? Naawe weebuuze.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *